5
Ananiya ne Safira
1 Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, n’atunda ebibye
2 ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’akiteeka ku bigere by’abatume.
3 Naye Peetero n’agamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, n’okulimba n’olimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro?
4 Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
5 Ananiya olwawulira ebigambo ebyo n’agwa eri n’afiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi.
6 Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7 Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye n’ayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo.
8 Peetero n’amubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala n’addamu nti, “Yee, gwe guugwo.”
9 Awo Peetero n’amugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere by’abo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.”
10 Amangwago n’agwa wansi ku bigere bya Peetero n’afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba.
11 Entiisa ey’amaanyi n’ebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo.
Abatume Bawonya Abantu Bangi
12 Abatume ne baba n’omwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu.
13 So ne wataba n’omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ng’abantu bonna baabasiima nnyo.
14 Abakkiriza bangi abasajja n’abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe.
15 Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo z’omu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ng’azze.
16 Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.
Abatume Bayigganyizibwa
17 Awo Kabona Asinga Obukulu, n’abo abaali naye ab’omu kibiina ky’Abasaddukaayo ne bajjula obuggya.
18 Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly’abantu bonna.
19 Naye mu kiro, malayika wa Mukama n’ajja n’aggulawo enzigi z’ekkomera n’abafulumya,
20 n’abagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo eby’obulamu buno.”
21 Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza.
Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olw’abakulu b’abaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese.
22 Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu
23 nga bagamba nti, “Tusanze enzigi z’ekkomera nga nsibe n’abakuumi bonna n’abaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu n’omu.”
24 Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma.
25 Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.”
26 Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja.
27 Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu n’ababuuza
28 ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.”
29 Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.
30 Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti.
31 Oyo Katonda n’amugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogw’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi.
32 Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gw’awa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.”
33 Awo ab’Olukiiko bwe baawulira ebigambo ebyo ne bajjula obusungu bungi n’okwagala ne baagala okubatta.
34 Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omunnyonnyozi w’amateeka era nga n’abantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, n’alagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru.
35 N’alyoka agamba banne ab’omu Lukiiko nti: “Abasajja Abayisirayiri, mwegendereze nnyo abasajja abo ne kye mugenda okubakolako.
36 Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era n’alowoozesa abantu nti muntu mukulu, era abantu ng’ebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo.
37 Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera eby’okubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako.
38 Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno y’abantu ejja kukoma.
39 Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira.
40 Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata.
41 Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi n’okubonaabona olw’Erinnya.
42 Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka g’abantu, nga babuulira Yesu.