11
1 Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.
Okubikka ku Mutwe mu Kusinza
2 Mbatenda nnyo Olw’okunzijjukiza mu bintu byonna era n’olw’okunyweza ebyo bye nabayigiriza.
3 Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, n’omusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo.
4 Noolwekyo omusajja yenna bw’asaba oba bw’ayogera eby’obunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe.
5 N’omukazi bw’asaba oba n’ayogera eby’obunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu n’oyo amwereddwako enviiri.
6 Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako.
7 Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n’ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye ky’ekitiibwa ky’omusajja.
8 Kubanga omusajja teyatondebwa ng’aggibwa mu mukazi, wabula omukazi ow’olubereberye ye yaggyibwa mu musajja.
9 Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw’omusajja.
10 Kale olw’ensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti afugibwa era ne bamalayika bakirabe.
11 Kyokka mu Mukama waffe, omukazi n’omusajja, buli omu yeetaaga munne.
12 Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.
13 Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe.
14 Obuzaaliranwa tebubalaga ng’omusajja bw’aba n’enviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa,
15 ate ng’omukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako.
16 Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.
Ekyekiro kya Mukama Waffe
17 Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi.
18 Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu.
19 Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke.
20 Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe.
21 Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde.
22 Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda.
23 Kubanga Mukama yennyini kye yampa ky’ekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati,
24 ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”
25 Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, “Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.”
26 Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.
27 Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe.
28 Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe.
29 Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga.
30 Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu n’abalwadde, era bangi bafudde.
31 Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga.
32 Kyokka Mukama bw’atusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu n’ensi.
33 Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, buli omu alinde munne.
34 Era singa wabaawo alumwa enjala amale okulya eka, bwe mukuŋŋaana muleme kwereetako musango. N’ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.