13
Okulabula Okusembayo
1 Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde.
2 Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira,
3 nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe.
4 Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.
5 Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa.
6 Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa.
7 Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa.
8 Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi.
9 Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya.
10 Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.
Okusiibula n’Omukisa
11 Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.
12 Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.
13 Abatukuvu bonna babalamusizza.
14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.