6
1 Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere.
2 Kubanga agamba nti,
“Nakuwulira mu biro ebituufu,
era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”
Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.
Ebizibu bya Pawulo
3 Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa,
4 naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa,
5 ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba,
6 ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa,
7 ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono,
8 wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima.
9 Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa,
10 nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.
11 Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, n’omutima gwaffe gugaziye.
12 Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna.
13 Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde n’abaana, temutwekwekerera.
14 Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?
15 Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza?
16 Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti,
“Nnaabeeranga mu bo
era natambuliranga mu bo,
nnaabeeranga Katonda waabwe,
nabo banaabeeranga bantu bange.”
17 Noolwekyo “muve wakati mu bo,
mubeeyawuleko,
bw’ayogera Mukama.
Temukwata ku bitali birongoofu,
nange nnaabaaniriza.”
18 Era “nnaabeeranga Kitammwe,
nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,”
bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.