5
Ekiwandiiko ku Kisenge
Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye. Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu. Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu. Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.
Mu kiseera ekyo ne walabika engalo z’omukono gw’omuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka n’alaba ekibatu ky’omukono nga kiwandiika. Entunula ye n’ekyuka, n’atya nnyo, n’amaviivi ge ne gakubagana n’amagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.
Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”
Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye ne balemwa okusoma ekiwandiiko ekyo newaakubadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo. Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, n’entunula ye ne yeeyongera okukyuka; n’abakungu be amagezi ne gababula.
10 Awo muka kabaka bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n’abakungu be, n’agenda mu kisenge ekinene embaga mwe yali n’ayogera nti, “Ayi kabaka, owangaale! Leka kweraliikirira, so tokeŋŋentererwa. 11 Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. 12 Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”
13 Awo Danyeri n’aleetebwa mu maaso ga kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Danyeri, omu ku abo abaaleetebwa kabaka kitange mu buwaŋŋanguse okuva mu Yuda? 14 Bantegeezezza ng’omwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli w’amagezi amasukkirivu. 15 Abasajja abagezigezi, n’abafumu baaleeteddwa mu maaso gange basome ekiwandiiko ekyo era bantegeeze n’amakulu gaakyo, naye balemeddwa okukinnyonnyola. 16 Naye ntegeezeddwa, ng’oyinza okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebizibu. Kaakano bw’ononsomera ekiwandiiko ekyo, era n’ontegeeza n’amakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ez’effulungu n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”
17 Awo Danyeri n’addamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, n’empeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze n’amakulu gaakyo.
18 “Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa n’obukulu, ayi kabaka; 19 era olw’obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; n’abo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; n’abo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, n’abo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga. 20 Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olw’amalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ekitiibwa kye ne kimuggyibwako. 21 N’agobebwa mu bantu, n’ebirowoozo bye ne biwaanyisibwa n’aba ng’ensolo ey’omu nsiko, n’abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’eggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, y’afuga obwakabaka bw’abantu, era y’ateekawo buli gw’asiima.
22 “Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ng’ebyo byonna wabimanya. 23 Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza. 24 Kale kyeyavudde akusindikira omukono ogwawandiise ebigambo ebyo.
25 “Era ebigambo ebyawandiikiddwa bye bino nti:
mene, mene, tekel, ufarsin.
26 “N’amakulu gaabyo ge gano:
Mene:* Katonda akendezezza ennaku z’obwakabaka bwo era abukomezza.
27 Tekel: Opimiddwa ku minzaani, era osangiddwa ng’obulako;
28 Peres: Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n’Abaperusi.”
29 Awo amangwago Berusazza n’alagira Danyeri ayambazibwe engoye ez’effulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era n’ekiragiro ne kiyita nga bw’ali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka.
30 Ekiro ekyo Berusazza kabaka w’Abakaludaaya n’attibwa. 31 Daliyo Omumeedi n’alya obwakabaka nga wa myaka nkaaga mu ebiri.
* 5:26 MENE kiyinza okutegeeza nti kubalibwaKiyinza okutegeeza omuwendo gw’ensimbi 5:27 TEKEL kiyinza okutegeeza nti kupimibwa ku minzaani 5:28 PERES kiyinza okutegeeza nti kugabanyaamu, ate ng’ebigabanyizibwamu bingiFarsin, ekigabanyizibwamu bwe kiba ekimu