8
Okwolesebwa kwa Danyeri okw’Endiga Ennume n’Embuzi Ennume
1 Mu mwaka ogwokusatu mu mirembe gya Kabaka Berusazza, nze Danyeri ne nfuna okwolesebwa oluvannyuma olwa kuli okwasooka.
2 Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu Susani mu ssaza Eramu, nga ndi ku mabbali g’omugga Ulaayi.
3 Ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, endiga ennume eyalina amayembe abiri, n’amayembe ago gombi nga mawanvu naye erimu nga lisinga linnaalyo obuwanvu, ate nga lyo lyakula luvannyuma.
4 Ne ndaba endiga ennume ng’etomera edda ku luuyi olw’ebugwanjuba n’eri obukiikakkono, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo. Ne wataba nsolo nkambwe n’emu egisinza amaanyi, ate nga mpaawo ayinza kuwona maanyi gaayo. N’ekola nga bwe yayagala era ne yeefuula ya kitalo.
5 Awo bwe nnali nkyalowooza ku ebyo, amangwago ne walabika embuzi ennume eyalina ejjembe eddene mu kyenyi ng’eva ebugwanjuba, n’esala okuva ku luuyi olumu olw’ensi, okulaga ku luuyi olulala nga terinnye ku ttaka.
6 N’erumba n’obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga.
7 Ne ngiraba ng’esemberera endiga eyo ennume, mu busungu obungi n’egitomera era n’emenya amayembe gaayo gombi; endiga ennume n’eggwaamu amaanyi n’eteyinza kwetaasa, embuzi ennume n’egikoona n’egwa wansi n’egirinnyirira, ne wataba n’omu eyayinza okuwonya endiga ennume eyo mu maanyi g’embuzi ennume.
8 Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo amangi, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, we lyali amayembe ana agalabika obulungi ne gamerawo nga gadda eri embuyaga ennya ez’omu ggulu.
9 Mu ago ne muva ejjembe eddala ettono, ne likula mu maanyi mangi okwolekera obukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’eri ensi ey’ekitalo ennungi.
10 Ne likula ne lituuka eri eggye ery’omu ggulu, ne lisuula abamu ku b’eggye n’emmunyeenye ezimu wansi ku nsi, ne libirinnyirira.
11 Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu w’eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekifo eky’awatukuvu ne lyonoonawo.
12 Olw’obujeemu eggye awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa.
13 Ne mpulira omutukuvu ng’ayogera, n’omutukuvu omulala n’agamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?”
14 N’aŋŋamba nti, “Okutuusa ng’ennaku enkumi bbiri mu bisatu ziyiseewo.”
Amakulu g’Okwolesebwa
15 Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omusajja.
16 Ne mpulira eddoboozi ly’omusajja emitala w’omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g’okwolesebwa okwo.”
17 Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”
18 Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ng’amaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye n’ankwatako n’angolokosa.
19 N’ayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro eby’enkomerero eby’okubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa eky’enkomerero.
20 Endiga ennume gye walaba ey’amayembe abiri, be bakabaka ab’Obumeedi, n’Obuperusi.
21 N’embuzi ennume endaawo ye kabaka w’e Buyonaani, n’ejjembe eddene eriri mu kyenyi kyayo ye kabaka ow’olubereberye.
22 N’amayembe ana agadda mu kifo kyalyo nga limenyese, bwe bwakabaka obuna obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba na buyinza bwe bumu ng’obubwe.
23 “Mu biro eby’enkomerero eby’okufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ng’alina obukoddyo bungi alivaayo.
24 Aliba n’amaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli ky’akola. Alizikiriza abantu ab’amaanyi n’abantu abatukuvu.
25 Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.
26 “Okwolesebwa okukwata ku biro eby’oku makya ne ku by’akawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”
27 Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.