32
1 Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,
wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
2 Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,
n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,
bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,
ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
3 Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama;
mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
4 Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
omwenkanya era omutereevu mu byonna.
5 Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali,
baswavu era tebakyali baana be,
wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.
6 Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda,
mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?
Si ye kitaawo eyakutonda,
n’akussaawo n’akunyweza?
7 Jjukira ebiseera eby’edda,
fumiitiriza ku myaka egyayita edda.
Buuza kitaawo ajja kukubuulira
ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
8 Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago
abantu bonna bwe yabayawulayawulamu,
yategeka ensalo z’amawanga
ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
9 Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be,
Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.
10 Yamuyisanga mu ddungu,
mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
11 Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,
n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,
era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,
n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
12 Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
so tewabangawo katonda mulala.
13 Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,
n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.
Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi
n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
14 ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,
n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,
n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,
awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,
wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.
15 Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;
ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.
Yava ku Katonda eyamukola,
n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
16 Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala
ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
17 Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda,
eri bakatonda be batamanyangako,
bakatonda abaggya abaali baakatuuka
bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
18 Weerabira Olwazi eyakuzaala,
weerabira Katonda eyakuzaala.
19 Mukama Katonda bwe yakiraba n’abeegobako
kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.
20 N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange
ndabe ebinaabatuukako;
kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu,
abaana abatalinaamu bwesigwa.
21 Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala,
ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa.
Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga,
ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera.
22 Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro,
ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe,
gusenkenya ensi n’ebibala byayo,
ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.
23 Nzija kubatuumangako emitawaana
ne mbayiwangako obusaale bwange.
24 Nnaabasindikiranga enjala namuzisa,
n’obulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza;
ndibaweereza ebisolo eby’amannyo amasongovu
n’ebyewalula mu nfuufu eby’obusagwa.
25 Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe
ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.
Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira
abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.
26 Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanya
wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.
27 Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza,
kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera,
ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde,
Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”
28 Lye ggwanga omutali magezi,
mu bo temuliimu kutegeera.
29 Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,
ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
30 Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,
abalabe baffe bakiriziganya naffe.
32 Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,
n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;
ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,
ebirimba byazo bikaawa;
33 wayini waazo bwe butwa bw’emisota
obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.
34 Ekyo saakyeterekera,
nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
35 Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.
Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,
obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,
n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
36 Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,
alisaasira abaweereza be,
bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,
omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
37 N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,
olwazi mwe beekweka.
38 Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,
ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?
Basituke bajje babayambe,
kale babawe obubudamo babakuume!
39 Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
nfumita era ne mponya;
era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
40 Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti,
ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna
41 bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,
n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,
nnaawalananga abalabe bange,
ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.
42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,
n’ekitala kyange kirirya ennyama,
n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa,
n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.
43 Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be,
kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be,
aliwalana abalabe be,
era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.
44 Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira.
45 Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri,
46 n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.
47 Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”
Okufa kwa Musa Kulangibwa
48 Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’agamba Musa bw’ati nti,
49 “Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
50 Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.
51 Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri.
52 Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”