Ekitabo Ekiyitibwa
Omubuulizi
1
Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu
1 Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
2 “Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi.
Byonna butaliimu.
3 Omuntu afuna ki mu byonna by’akola,
mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
4 Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja,
naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
5 Enjuba evaayo era n’egwa,
ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
6 Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo,
ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono;
empewo yeetooloola ne yeetooloola,
n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
7 Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja,
naye ennyanja tejjula;
ekifo emigga gye gikulukutira
era gye gyeyongera okukulukutira.
8 Ebintu byonna bijjudde obukoowu
omuntu bw’atasobola kutenda!
Eriiso terimatira kulaba,
wadde okutu okukoowa okuwulira.
9 Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo,
n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa;
era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
10 Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti,
“Laba kino kiggya”?
Kyaliwo dda
mu mirembe egyatusooka?
11 Tewali kujjukira bintu byasooka
era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
Amagezi Agatali ga Katonda Butaliimu
12 Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi.
13 Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya.
14 Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
15 Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa,
n’ekibulako tekibalibwa.
16 Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.”
17 Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.
18 Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi;
amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.