14
1 Abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja gye ndi, ne batuula mu maaso gange.
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti,
3 “Omwana w’omuntu, abasajja bano batadde bakatonda abalala ku mitima gyabwe ne bateeka n’ebyesittaza mu maaso gaabwe. Mbakkirize banneebuuzeeko?
4 Noolwekyo yogera gye bali obategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omuyisirayiri yenna bw’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe, n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, n’agenda eri nnabbi, nze kennyini, nze nnaamwanukulanga olwa bakatonda be abalala baayita abakulu.
5 Bwe ntyo bwe ndikola okwewangulira emitima gy’ennyumba ya Isirayiri, bonna abaanvaako okugoberera bakatonda abalala.’
6 “ ‘Noolwekyo tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mwenenye muleke bakatonda bammwe, mulekeyo ebikolwa byammwe eby’ekivve.
7 “ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bw’ananvangako, n’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, ate n’agenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze Mukama nze nnaamwanukulanga.
8 Omuntu oyo nnaamulwanyisanga ne mufuula ekyokulabirako era eky’okunyumyako. Ndimusalako ku bantu be, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
9 “ ‘Nnabbi bw’anaasendebwasendebwanga okuwa obubaka ng’ategeeza nti nze Mukama Katonda nsenzesenze nnabbi oyo, ndigolola omukono gwange ku ye ne muzikiriza okumuggya mu bantu bange Isirayiri.
10 Baliba bansingiddwa omusango, era nnabbi aliba asingiddwa omusango gwe gumu n’oyo azze okumwebuuzaako.
11 Olwo ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo nate kubula newaakubadde okweyonoona n’ebibi byabwe byonna. Baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
12 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti,
13 “Omwana w’omuntu, ensi bw’ekola ebibi mu maaso gange n’ebeera etali nneesigwa, ne ngolola omukono gwange gy’eri ne nsalako obugabirizi bw’emmere yaabwe, ne mbasindikira ekyeya, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe,
14 newaakubadde ng’abasajja bano abasatu Nuuwa, ne Danyeri, ne Yobu bandibadde bagirimu, bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
15 “Oba newaakubadde nga nsindika ensolo enkambwe ez’omu nsiko mu nsi eyo, ne zigyonoona ne zigireka nga temuli mwana n’omu, n’efuuka matongo, ne wataba n’omu agiyitamu olw’ensolo ezo,
16 ddala nga bwe ndi omulamu, abasajja abo abasatu tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Bo bokka be bandiwonye, naye ensi yandifuuse matongo.
17 “Oba singa ndeeta ekitala ku nsi eyo ne njogera nti, ‘Leka ekitala kiyite mu nsi yonna,’ ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe,
18 nga bwe ndi omulamu, newaakubadde ng’abasajja bano abasatu bandibadde bagirimu, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe. Bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
19 “Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eyo, ne mbafukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi mu nsi eyo, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe,
20 nga bwe ndi omulamu, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza mutabani waabwe newaakubadde muwala waabwe. Bo bokka be nandiwonyezza olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
21 “Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kiriba kitya bwe ndiweereza ebibonerezo byange ebina: ekitala n’ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko ne kawumpuli, ku Yerusaalemi, okutta abantu baamu n’ensolo zaabwe!
22 Naye ate nga walibaawo abamu abaliwona, abaana aboobulenzi n’aboobuwala abaliggibwamu. Balijja gy’oli, era bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe, olikkiriza akabi ke ndeese ku Yerusaalemi, buli kabi ke mmuleeseeko.
23 Bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe olikkiriza nga sirina kye nkoze mu Yerusaalemi awatali nsonga, bw’ayogera Mukama Katonda.”