2
Okuyitibwa kwa Ezeekyeri
1 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimirira njogere naawe.”
2 Awo bwe yali ng’akyayogera nange, Omwoyo nanzikako n’annyimusa, ne mpulira ng’ayogera nange.
3 N’ayogera nti, “Omwana w’omuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjeemera okuva edda n’okutuusa olunaku lwa leero.
4 Abantu be nkutumamu bakakanyavu era bakozi ba bibi. Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,’
5 Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi.
6 Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu.
7 Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu.
8 Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.”
9 Awo ne ntunula, ne ndaba omukono nga gugoloddwa gye ndi, mu gwo nga mulimu omuzingo gw’ekitabo.
10 N’agwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo eby’okukungubaga n’okukuba ebiwoobe, n’okukaaba.