24
Entamu Efumba
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 “Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero.
3 Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Muteeke entamu ku kyoto,
musseemu amazzi.
4 Mugiteekemu ebifi eby’ennyama,
ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono.
Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi,
5 mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo,
Oteeke ebisiki wansi w’entamu,
mweseze ebigirimu,
era ofumbe n’amagumba agalimu.
6 “ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi,
ggwe entamu eriko enziro,
eteereddwamu ebintu ebitaaveemu.
Gyamu ekifi kimu kimu
awatali kukuba kalulu.
7 “ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye,
yaguyiwa ku lwazi olwereere;
teyaguyiwa wansi
enfuufu ereme okugubikka.
8 Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga
n’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere,
guleme okubikkibwako.
9 “ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti,
“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi!
Nange ndituuma enku nnyingi ddala.
10 Mutuume ebisiki,
mukume omuliro,
ennyama mugifumbe bulungi,
mugiteekemu ebirungo,
n’amagumba gasiriire.
11 Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga,
okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera,
ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka,
n’ebyateekebbwamu ne byokebwa.
12 Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere,
kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu,
n’omuliro nagwo tegubyokeza.
13 “ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.
14 “ ‘Nze Mukama njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Mukazi wa Ezeekyeri Afa
15 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
16 “Omwana w’omuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba.
17 Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.”
18 Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange n’afa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa.
19 Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?”
20 Awo ne mbaddamu nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira n’aŋŋamba nti,
21 Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, n’emitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa n’ekitala.
22 Mulikola nga nze bwe nkoze, so temulibikka wansi w’amaaso gammwe newaakubadde okulya emmere ey’omulumbe.
23 Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku.
24 Era Ezeekyeri aliba kabonero gye muli, era mulikola nga bw’akoze. Ebyo bwe biribaawo, mulimanya nga nze Mukama Katonda.’
25 “Ate ggwe, omwana w’omuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, n’essanyu lyabwe n’ekitiibwa kyabwe, n’okwegomba okw’amaaso gaabwe, n’okwegomba okw’emitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe,
26 ku lunaku olwo aliba awonyeewo y’alikuwa amawulire.
27 Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze Mukama.”