10
Abantu Baatula Ekibi Kyabwe
1 Awo Ezera bwe yali ng’asaba, ng’ayatula ebibi mu lwatu, ng’akaaba, era ng’avunnamye mu maaso g’ennyumba ya Katonda, ekibiina ekinene eky’Abayisirayiri, abasajja, n’abakyala, n’abaana ne bakuŋŋaana gy’ali, nabo nga bakaaba nnyo nnyini.
2 Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri, omu ku bazzukulu ba Eramu n’agamba Ezera nti, “Tetubadde beesigwa eri Katonda waffe, kubanga twawasa abakazi bannaggwanga ab’oku mawanga agatwetoolodde. Naye newaakubadde nga twakola bwe tutyo, wakyaliwo essuubi eri Isirayiri.
3 Noolwekyo tukole endagaano ne Katonda waffe tuve ku bakazi abo bonna n’abaana be twabazaalamu, ng’okuteesa kwa mukama wange n’abo abatya ebiragiro bya Katonda waffe bwe kuli, era kikolebwe ng’etteeka bwe litulagira.
4 Golokoka kubanga obuvunaanyizibwa obwo buli mu mukono gwo era tuli beeteefuteefu okukuwagira, noolwekyo guma omwoyo okikole.”
5 Awo Ezera n’agolokoka n’alayiza bakabona abakulu n’Abaleevi ne Isirayiri yenna okukola nga bwe kyateesebwa. Ne balayira.
6 Ezera n’agolokoka n’ava mu maaso g’ennyumba ya Katonda n’agenda mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, naye n’atalya mmere newaakubadde okunywa amazzi ng’akyanakuwalidde obutali bwesigwa bw’abaawaŋŋangusibwa.
7 Awo ekirango ne kiyisibwa mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi nti abawaŋŋangusibwa abaakomawo bakuŋŋaanire mu Yerusaalemi.
8 Era ne kigambibwa nti omuntu yenna aliba tazze mu nnaku ssatu, alifiirwa ebintu bye byonna, ate n’agobebwa ne mu kuŋŋaaniro lya baawaŋŋangusibwa.
9 Mu nnaku ssatu, abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi. Awo ku lunaku olw’amakumi abiri olw’omwezi ogw’omwenda abantu bonna ne batuula mu luggya olugazi mu maaso g’ennyumba ya Katonda nga banakuwavu olw’ensonga eyo ate era n’olw’enkuba eyatonnya.
10 Awo Ezera kabona n’ayimirira n’abagamba nti, “Mwayonoona bwe mwawasa abakazi bannamawanga ne mwongera ku musango gwa Isirayiri.
11 Kaakano mwatule ebibi byammwe eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by’asiima. Mweyawule ku mawanga agabeetoolodde era muleke n’abakazi bannamawanga.”
12 Awo ekibiina kyonna ne kiddamu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Oli mutuufu, tuteekwa okukola nga bw’ogambye.
13 Naye abantu bangi, era n’ekiseera kya nkuba, tetuyinza kuyimirira bweru. N’ensonga eyookubiri, omulimu guno teguyinza kukolebwa mu lunaku lumu oba mu nnaku bbiri, kubanga twonoonye nnyo nnyini mu kigambo ekyo.
14 Abakulu baffe beeyimirire olukuŋŋaana lwonna, na buli muntu awamu n’abakadde n’abalamuzi aba buli kibuga mu bibuga byaffe eyawasa omukazi omunnaggwanga, ajje mu kiseera ekiragaane alongoose ensonga eyo, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe lwe bulituvaako olw’ekigambo ekyo.”
15 Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yozeya mutabani wa Tikuva, nga bawagirwa Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi be bokka abawakanya ekiteeso ekyo.
16 Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola ng’ekiteeso bwe kyali. Ezera kabona n’abaalondebwa ku bakulu b’ennyumba, omu mu buli nnyumba ne baawulibwa mu mannya gaabwe. Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi ne batuula okunoonyereza ku bigambo ebyo;
17 ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza ensonga eyo ey’abasajja bonna abaali bawasizza abakazi abannamawanga.
Abaasingibwa Omusango
18 Mu lulyo olwa bakabona, abaali bawasizza abakazi bannamawanga baali:
Maaseya, ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya bazzukulu ba Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda be.
19 Ne bamalirira okulekayo bakazi baabwe abo, n’omutango gwe baawaayo olw’omusango gwali ndiga nnume.
20 Ku bazzukulu ba Immeri:
Kanani ne Zebadiya.
21 Ku bazzukulu ba Kalimu:
Maaseya, ne Eriya, ne Semaaya, ne Yekyeri ne Uzziya.
22 Ku bazzukulu ba Pasukuli:
Eriwenayi, ne Maaseya, ne Isimayiri, ne Nesaneri, ne Yozabadi ne Erasa.
23 Ku Baleevi:
Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya (era ye Kerita), ne Pesakiya, ne Yuda ne Eryeza.
24 Ku bayimbi:
Eriyasibu,
ne ku baakuumanga wankaaki:
Sallumu, ne Teremu ne Uli.
25 Mu Bayisirayiri abalala:
Ku bazzukulu ba Palosi:
Lamiya, ne Izziya, ne Malukiya, ne Miyamini, ne Eriyazaali, ne Malukiya ne Benaya.
26 Ku bazzukulu ba Eramu:
Mattaniya, ne Zekkaliya, ne Yekyeri, ne Abudi, ne Yeremoosi ne Eriya.
27 Ku bazzukulu ba Zattu:
Eriwenayi, ne Eriyasibu, ne Mattaniya, ne Yeremoosi, ne Zabadi, ne Aziza.
28 Ku bazzukulu ba Bebayi:
Yekokanani, ne Kananiya, ne Zabbayi ne Asulaayi.
29 Ku bazzukulu ba Bani:
Mesullamu, ne Malluki, ne Adaya, ne Yasubu, ne Seyaali ne Yeremoosi.
30 Ku bazzukulu ba Pakasumowaabu:
Aduna, ne Kerali, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattaniya, ne Bezaleeri, ne Binnuyi ne Manase.
31 Ku bazzukulu ba Kalimu: Eryeza, ne Isusiya, ne Malukiya,
ne Semaaya, ne Simyoni,
32 ne Benyamini, ne Malluki, ne Semaliya.
33 Ku bazzukulu ba Kasumu:
Mattenayi, ne Mattata, ne Zabadi, ne Erifereti, ne Yeremayi, ne Manase, ne Simeeyi.
34 Ku bazzukulu ba Baani:
Maadayi, ne Amulaamu, ne Uweri,
35 ne Benaya, ne Bedeya, ne Keruki,
36 ne Vaniya, ne Meremoosi, ne Eriyasibu,
37 ne Mattaniya, ne Mattenayi, ne Yaasu,
38 ne Bani, ne Binnuyi,
ne Simeeyi,
39 ne Seremiya, ne Nasani, ne Adaya,
40 ne Makunadebayi, ne Sasayi, ne Salaayi,
41 ne Azaleri, ne Seremiya, ne Semaliya,
42 ne Sallumu, ne Amaliya ne Yusufu.
43 Ku bazzukulu ba Nebo:
Yeyeri, ne Mattisiya, ne Zabadi, ne Zebina, ne Iddo, ne Yoweeri ne Benaya.
44 Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, n’abamu ku bo nga babazaddemu abaana.