10
Kristo Yeewaayo Omulundi Gumu ku lwa Bonna
1 Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo.
2 Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe.
3 Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe.
4 Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.
5 Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti,
“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Naye wanteekerateekera omubiri.
6 Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,
tewabisiima.
7 Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:
Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”
8 Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira,
9 n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri.
10 Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.
11 Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi,
12 naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
13 Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye.
14 Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.
15 Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,
16 “Eno y’endagaano gye ndikola nabo,
oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,
era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”
17 Ayongerako kino nti,
“Sirijjukira nate bibi byabwe
newaakubadde obujeemu bwabwe.”
18 Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.
Obugumiikiriza
19 Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu,
20 eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe,
21 kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda,
22 tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu.
23 Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa,
24 era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi.
25 Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.
26 Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi.
27 Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.
28 Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza.
29 Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo?
30 Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.”
31 Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!
32 Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi.
33 Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe.
34 Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.
35 Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene.
36 Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.
37 Wasigadde akaseera katono nnyo,
oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,
kyokka bw’adda emabega simusanyukira.
39 Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.