8
Kabona Omukulu ow’Endagaano Empya
1 Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu,
2 omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.
3 Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo.
4 Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira.
5 Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.”
6 Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.
7 Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri.
8 Kubanga bw’abanenya ayogera nti,
“Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,
awamu n’ennyumba ya Yuda.
9 Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe
lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.
Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,
nange ssaabassaako mwoyo,”
bw’ayogera Mukama.
10 “Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe
era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,
nange nnaabeeranga Katonda waabwe,
nabo banaabeeranga bantu bange.
11 Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,
‘Manya Mukama,’
Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu
bonna balimmanya.
12 Era ndibasaasira,
n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”
13 Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.