Ekitabo Ekiyitibwa
Isaaya
1
Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
Eggwanga Ejjeemu
Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,
kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,
“Nayonsa ne ndera abaana
naye ne banjeemera.
Ente emanya nannyini yo
n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
abantu bange tebantegeera.”
 
Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
 
Lwaki mweyongera okujeema?
Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
n’omutima gwonna gunafuye.
Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
wadde okuteekebwako eddagala.
 
Ensi yammwe esigadde matongo,
ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
Bannamawanga* balidde ensi yammwe,
era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
Omuwala wa Sayuuni alekeddwa
ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,
ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu,
ng’ekibuga ekizingiziddwa.
Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
twandifuuse nga Ggomola.
 
10 Muwulirize ekigambo kya Katonda
mmwe abafuzi ba Sodomu!
Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe
mmwe abantu b’e Ggomola!
11 “Ssaddaaka enkumu ze munsalira
zingasa ki?
Nkooye endiga ennume
enjokye eziweebwayo,
so sisanyukira musaayi gwa nte,
newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
12 Bwe mujja mu maaso gange,
ani aba abayise
ne mujja okulinnyirira empya zange?
13 Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;
obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.
Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe
zijjudde obutali butuukirivu.
14 Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,
emmeeme yange ebikyaye,
binfuukidde omugugu,
nkooye okubigumiikiriza.
15 Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.
 
16 Munaabe, mwetukuze
muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,
mulekeraawo okukola ebibi.
17 Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
muwolerezenga bannamwandu.
 
18 “Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”
bw’ayogera Mukama;
“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu
binaafuuka byeru ng’omuzira,
ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,
binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19 Bwe munaagondanga ne muwulira,
munaalyanga ebirungi eby’ensi;
20 naye bwe munaagaananga ne mujeemanga
ekitala kinaabalyanga,”
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
 
21 Laba ekibuga ekyesigwa
bwe kifuuse ng’omwenzi!
Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!
Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,
naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Effeeza yo efuuse masengere,
wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 Abafuzi bo bajeemu,
mikwano gya babbi,
bonna bawoomerwa enguzi,
era banoonya kuweebwa birabo;
tebayamba batalina ba kitaabwe,
so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
24 Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye,
ow’amaanyi owa Isirayiri nti,
“Ndifuka obusungu ku balabe bange,
era ne nesasuza abo abankyawa.
25 Era ndikukwatamu n’omukono gwange,
ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna
ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26 Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye
n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka.
Olwo olyoke oyitibwe
ekibuga eky’obutuukirivu,
ekibuga ekyesigwa.”
 
27 Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya,
n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28 Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,
n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
 
29 “Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti
mwe mwenyumiririzanga,
n’olw’ennimiro
ze mweroboza.
30 Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka
era ng’ennimiro etaliimu mazzi.
31 N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,
n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,
era byombi biriggiira wamu
so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”
* 1:7 Kino kyogera ku kulumbibwa kw’abantu b’omu Bwasuli mu biro bya Sennakeribu (2Bk 18:13). 1:8 emyungu ziba bika bya nsujju; emu eyitibwa omungu