19
Obunnabbi Obukwata ku Misiri
Obunnabbi obukwata ku Misiri:
Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.
 
Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,
balwane buli muntu ne muganda we,
na buli muntu ne muliraanwa we;
ekibuga n’ekibuga,
obwakabaka n’obwakabaka.
Abamisiri baliggwaamu omwoyo
era entegeka zaabwe zonna ndizitta;
era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,
n’abaliko emizimu n’abalogo.
Era ndigabula Abamisiri
mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,*
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
 
Omugga gulikalira
n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
N’emikutu giriwunya ekivundu,
n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;
ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
Ebimera ebiri ku Kiyira,
ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,
ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,
birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,
n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira
balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,
n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
10 Abakozi balikwatibwa ennaku,
bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
11 Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,
abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
bakyamizza Misiri.
14  Mukama abataddemu
omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
16 Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
18 Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
23 Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”
* 19:4 Mu 712, Kabaka Sabaka ow’e Esiyopya n’afuga Misiri