39
Ababaka Okuva e Babulooni
1 Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye.
2 Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
3 Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?”
Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”
4 N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?”
Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”
5 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba:
6 Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama.
7 N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”
8 Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”