65
Omusango n’Obulokozi
Mukama n’alyoka agamba nti,
“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.
Neeraga abo abaali tebannoonya.
Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba
eri abantu abeewagguzze,
abatambulira mu makubo amabi
abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
abantu bulijjo
abansomooza mu maaso gange gennyini
nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro
ne bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali;
abatuula mu malaalo
ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,
abalya ennyama y’embizzi,
era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,
kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’
Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,
omuliro ogwaka olunaku lwonna.
 
“Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.
Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,
nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi
era ne bannyoomera ku busozi,
ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu
ey’ebikolwa byabwe eby’edda.”
Bw’atyo bw’ayogera Mukama:
“Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu
abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona,
gukyalimu akalungi,’
bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange.
Sijja kubasaanyaawo bonna.
Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo
era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange;
abantu bange abalonde balizigabana,
era eyo abaweereza bange gye balibeera.
10 Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,
era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira
olw’abantu bange abannoonya.
 
11 “Naye mmwe abava ku Mukama
ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu
ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa,
ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo,
12 ndibawaayo eri ekitala
era mwenna mukutaamirire musalibwe,
kubanga nabayita naye temwayitaba,
nayogera naye temwampuliriza.
Mwakola ebitasaana
era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
13 Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:
“Abaweereza bange bajja kulya,
naye mmwe mujja kulumwa enjala,
abaweereza bange bajja kunywa,
naye mmwe mulumwe ennyonta;
abaweereza bange bajja kujaguza,
naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 Abaweereza bange bajja kuyimba
olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,
naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe
era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
15 Ekikolimo kiryoke kibagwire,
Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte
amannya gammwe geerabirwe,
naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
16 Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa
anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima
buli anaalayiranga mu ggwanga
anaalayiranga Katonda ow’amazima.
Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa
gikwekebwe okuva mu maaso gange.
Eggulu Epya n’Ensi Empya
17 “Laba nditonda eggulu eriggya
n’ensi empya.
Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa
wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 Naye musanyukire ekyo kye ntonda
mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
n’abantu baamu okuba okujaguza.
19 Ndijaguza olwa Yerusaalemi
era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
tegaliddayo kuwulirwamu.
 
20 “Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere
anaaberawo ennaku obunaku,
oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;
oyo alifiira ku myaka ekikumi
alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.
Oyo atalituusa kikumi
abalibwe ng’eyakolimirwa.
21 Balizimba ennyumba bazisulemu,
balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,
tebalisimba ate omulala abirye.
Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba
bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.
Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa
emirimu gy’emikono gyabwe.
23 Tebalikolera bwereere
oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,
kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,
bo awamu n’ab’enda yaabwe.
24 Nga tebanakoowoola ndibaddamu,
nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,
era empologoma erye omuddo ng’ennume,
era ettaka libeere emmere y’omusota.
Tewaliba kulumya
wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.