9
Yobu Ayanukula
1 Yobu n’alyoka addamu nti,
2 “Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
3 Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
4 Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
5 Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde
era n’azivuunika ng’asunguwadde.
6 Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo
era n’akankanya empagi zaayo.
7 Ayogera eri enjuba ne teyaka,
akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
8 Ye yekka abamba eggulu
era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
9 Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
10 Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,
n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
11 Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba,
bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
12 Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?
Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13 Katonda taziyiza busungu bwe;
n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
14 Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?
Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
15 Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,
mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
16 Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,
sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
17 Yandimenyeemenye mu muyaga
nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
18 Teyandindese kuddamu mukka
naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
19 Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.
Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
20 Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.
Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.
21 “Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,
sikyefaako,
obulamu bwange mbunyooma.
22 Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
23 Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo,
Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
24 Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
Abikka ku maaso g’abagiramula.
Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
25 Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,
zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
26 Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo agadduka ennyo,
ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
27 Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,
oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
28 ne neekokkola okubonaabona kwange,
mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
29 Omusango gunsinze,
lwaki nteganira obwereere?
30 Ne bwe nandinaabye sabbuuni
n’engalo zange ne nzitukuza,
31 era wandinsudde mu kinnya,
n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
32 Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,
era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
33 Tewali mutabaganya
ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
34 eyandizigyeko omuggo gwa Katonda
entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
35 Olwo nno nandyogedde nga simutya;
naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”