2
Okusaba kwa Yona
1 Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba
2 nti,
“Mu nnaku yange ennyingi
nakaabirira Mukama n’anziramu;
mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,
era n’owulira eddoboozi lyange!
3 Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,
ne nzika, amayengo gonna,
ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta
ne bimbikka
ne binneetooloola.
4 Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa
mu maaso go;
Ddala ndiddayo nate
okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
5 Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;
Amazzi nga ganneetoolodde
era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
6 Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,
ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.
Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,
Ayi Mukama Katonda wange.
7 “Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika
ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.
Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka
mu yeekaalu yo entukuvu.
8 “Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,
beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
9 Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,
ndikuwa ssaddaaka.
Ddala ndituukiriza obweyamo bwange
kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”
10 Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.