5
Yesu Awonyeza ku Kidiba
1 Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya.
2 Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola.
3 Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye.
4 Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa.
5 Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana.
6 Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
7 Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”
8 Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.”
9 Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.
Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.
10 Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”
11 Ye n’addamu nti, “Omuntu amponyezza y’aŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’ ”
12 Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”
13 Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14 Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.”
15 Omuntu oyo n’agenda n’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.
16 Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ng’ekyo ku Ssabbiiti.
17 Yesu n’abaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.”
18 Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.
19 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola.
20 Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino.
21 Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala.
22 Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we,
23 abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.
24 “Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu.
25 Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu.
26 Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye,
27 era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.
28 “Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye
29 ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.
30 Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.
31 Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima.
32 Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.
33 “Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde eby’amazima.
34 Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe.
35 Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.
36 “Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma
37 ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye.
38 N’ekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma.
39 Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira.
40 Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.
41 “Sinoonya kusiimibwa bantu.
42 Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda.
43 Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bw’anajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza.
44 Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?
45 “Naye temulowooza nti ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi.
46 Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako.
47 Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”