17
Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda
1 “Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
2 N’abaana baabwe basinziza
ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
era ne ku busozi obuwanvu.
3 Olusozi lwange oluli mu nsi,
obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
4 Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
ogunaayakanga emirembe gyonna.”
5 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
era alina omutima oguva ku Katonda.
6 Aliba ng’ekisaka mu ddungu,
ataliraba birungi bwe birijja,
naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,
ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.
7 Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
nga Mukama ly’essuubi lye.
8 Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
era teguliremwa kubala bibala.
9 Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
era gulwadde endwadde etawonyezeka.
Ani ayinza okugutegeera?
10 “Nze Mukama nkebera omutima,
ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
ng’ebikolwa bye bwe biri.”
11 Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,
bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;
obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,
bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.
12 Ekifo kyaffe ekitukuvu,
ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri,
bonna abakuvaako baliswala.
Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,
kubanga bavudde ku Mukama,
oluzzi olw’amazzi amalamu.
14 Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,
ndokola nange nnaalokoka,
kubanga ggwe gwe ntendereza.
15 Tobakkiriza kuŋŋamba nti,
“Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa?
Ka kituukirire nno kaakano!”
16 Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,
omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.
Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
17 Toba wa ntiisa gye ndi,
ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
18 Abo abanjigganya leka baswale,
era onkuume nneme kuswala;
leka bagwemu ekyekango
nze onkuume nneme okwekanga,
batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,
bazikiririze ddala.
Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu
19 Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi.
20 Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga.
21 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna,
22 era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’
23 Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa.
24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna,
25 olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna.
26 Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama.
27 Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”