22
Omusango eri Bakabaka Ababi
1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda
2 olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino.
3 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.
4 Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe.
5 ‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
6 Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,
“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,
ng’entikko y’olusozi Lebanooni,
ddala ddala nzija kukufuula ddungu,
ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
7 Ndikusindikira abakuzikiriza,
buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,
era balitema emivule gyo egisinga obulungi
ne bagisuula mu muliro.
8 “Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’
9 Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”
10 Temukaabira kabaka afudde
oba okumukungubagira,
wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,
kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
11 Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda.
12 Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”
13 “Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,
ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya
abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere
n’atabasasula mpeera yaabwe.
14 Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene
n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’
Kale nnaakola amadirisa amanene
nnaateekamu emivule
era nnaasiigako langi emyufu.
15 “Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?
Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?
Yakola ebituufu eby’obwenkanya.
Noolwekyo byonna
byamugendera bulungi.
16 Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu
kale byonna ne bimugendera bulungi.
Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”
bw’ayogera Mukama.
17 “Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe
biri ku magoba ag’obukuusa,
ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango
ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”
18 Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,
“Tebalimukungubagira;
‘Kikafuuwe, mukama wange!’
Kikafuuwe,
obugagga bwe!
19 Aliziikibwa
nga bwe baziika endogoyi,
akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”
20 “Genda mu Lebanooni okaabe,
leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.
Kaabira ku Abalimu,
kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
21 Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga
naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’
Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,
togonderanga ku ddoboozi lyange.
22 Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,
n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.
Olwo okwatibwe ensonyi
oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
23 Mmwe abali mu Lebanooni,
abesulira mu bizimbe eby’emivule,
nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!
Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
24 “Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama.
25 “Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya.
26 Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira.
27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”
28 Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
29 Ayi ggwe ensi, ensi,
wulira ekigambo kya Katonda!
30 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako
kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,
alituula ku ntebe ya Dawudi
oba aliddayo okufuga mu Yuda.”