47
Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti
Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:
 
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,
galifuuka omugga ogwanjaala.
Galyanjaala ku nsi
ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.
Abantu balikaaba;
bonna abali mu nsi baliwowoggana.
Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka
n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe
era n’okuwuuma kwa nnamuziga,
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,
emikono gyabwe gya kulebera.
Kubanga olunaku lutuuse
okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.
Asukulooni alisirisibwa.
Ggwe eyasigala mu kiwonvu,
olituusa ddi okwesalaasala?
 
“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,
obudde bunaatuuka ddi owummule?
Ddayo mu kiraato kyo
sirika teweenyeenya.’
Naye kiyinza kitya okuwummula
nga Mukama y’akiragidde,
ng’akiragidde
okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”