8
1 “Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago.
2 Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka.
3 N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Ekibi n’Okubonerezebwa
4 “Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omuntu bw’agwa, tayimuka?
Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
5 Kale lwaki abantu bange bano
banvaako ne bagendera ddala?
6 Nawuliriza n’obwegendereza
naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
7 Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
tebamanyi biragiro bya Mukama.”
8 Muyinza mutya okwogera nti,
“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
yeebikyusizza.
9 Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
magezi ki ge balina?
10 Noolwekyo bakazi baabwe
ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
11 Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
babikomya kungulu nga boogera nti,
Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
12 Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,
so tebamanyi wadde okulimbalimba.
Noolwekyo baligwira mu bagudde,
balikka lwe balibonerezebwa,”
bw’ayogera Mukama.
13 “Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Tewaliba zabbibu,
na mutiini,
n’ebikoola byabwe biriwotoka.
Bye mbawadde
biribaggyibwako.
14 Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?
Mukuŋŋaane.
Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe
tuzikiririre eyo.
Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire
era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,
kubanga twonoonye mu maaso ge.
15 Twasuubira mirembe
naye tewali bulungi bwajja;
twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye waaliwo ntiisa.
16 Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
ensi ne byonna ebigirimu,
ekibuga ne bonna abakibeeramu.
17 “Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,
amasalambwa g’otasobola kufuga,
emisota egyo girikuluma,”
bwayogera Mukama.
18 Nnina ennaku etewonyezeka,
omutima gwange gwennyise.
19 Wuliriza okukaaba kw’abantu bange
okuva mu nsi ey’ewala.
“Mukama taliimu mu Sayuuni?
Kabaka we takyalimu?”
“Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe,
bakatonda abalala abatagasa?”
20 “Amakungula gayise,
n’ekyeya kiyise,
tetulokolebbwa.”
21 Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange.
Nkaaba ne nzijula ennaku.
22 Teri ddagala mu Gireyaadi?
Teriiyo musawo?
Lwaki ekiwundu ky’abantu bange
tekiwonyezebwa?