Ekitabo Ekiyitibwa
Bassekabaka
eky’Olubereberye
1
Adoniya yeefuula Kabaka
Awo kabaka Dawudi bwe yali akaddiye nnyo, nga ne bwe bamubikka takyabuguma, abaweereza be ne bamuwa ekirowoozo nti, “Banoonyeze mukama waffe kabaka, omuwala embeerera ayimirirenga mu maaso ga kabaka era amuweerezenga; era agalamirenga mu kifuba kya mukama waffe kabaka amubugumyenga.” Awo ne banoonya okubuna ensalo zonna eza Isirayiri omuwala omulungi, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka. Omuwala oyo yali mulungi nnyo; n’ajjanjabanga kabaka era n’amuweerezanga, naye kabaka teyamumanya.
Awo Adoniya* mutabani wa Dawudi gwe yazaala mu Kaggisi ne yeegulumiza ng’ayogera nti, “Nze ndiba kabaka.” Ne yeetegekera amagaali n’abeebagala embalaasi, n’abasajja amakumi ataano ab’ebigere okuddukiranga mu maaso ge. Kitaawe n’atamunenya ku mubuuza nti, “Lwaki weeyisa bw’otyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, nga y’adda ku Abusaalomu.
Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona, ne baamuwagira. Naye Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, ne Nasani nnabbi, ne Simeeyi, ne Leeyi, n’abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala tebaali ku ludda lwa Adoniya.
Adoniya n’attira endiga n’ente n’ebyassava awali ejjinja Zokeresi eririraanye Enerogeri, n’ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n’abakungu bonna aba Yuda, 10 naye n’atayita Sulemaani muganda we wadde Nasani nnabbi, newaakubadde Benaya, newaakubadde abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala.
11 Awo Nasani n’agenda eri Basuseba nnyina Sulemaani n’amugamba nti, “Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi? 12 Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obwa mutabani wo Sulemaani. 13 Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’ 14 Laba bw’onooba ng’okyayogera ne kabaka, nange nnaayingira ne nkakasa ebigambo byo.”
15 Awo Basuseba n’agenda eri Kabaka, mu kisenge kye, era Kabaka yali mukadde nnyo nga Abisaagi Omusunammu amuweereza. 16 Basuseba n’akka n’afukamirira kabaka.
Kabaka n’amubuuza nti, “Nkukolere ki?”
17 N’amuddamu nti, “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo eri Mukama Katonda wo nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka.’ 18 Naye kaakano Adoniya alidde obwakabaka, newaakubadde mukama wange kabaka, tokimanyi. 19 Asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu w’eggye, naye Sulemaani omuddu wo tamuyise. 20 Kaakano mukama wange kabaka, amaaso ga Isirayiri gatunuulidde gwe, okubategeeza anaatuula ku ntebe y’obwakabaka eya mukama wange kabaka, oluvannyuma lwe. 21 Bw’otookole bw’otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw’olyebakira awamu ne bajjajjaabo, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa babi.”
22 Awo bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n’ayingira. 23 Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo n’ayingira mu maaso ga kabaka, era n’avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
24 Nasani n’ayogera nti, “Mukama wange, wagamba nti Adoniya y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwo, era y’alituula ku ntebe yo? 25 Olwa leero aserengese, era asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n’abakulu b’eggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’ 26 Naye nze omuddu wo, ne Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n’omuddu wo Sulemaani, tatuyise. 27 Kino mukama wange kabaka, okikoze n’ototegeeza baweereza bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka ey’obwakabaka, oluvannyuma lwe?”
28 Awo Kabaka Dawudi n’addamu nti, “Muyite Basuseba.” Basuseba n’ajja awali kabaka n’ayimirira mu maaso ge.
29 Awo kabaka n’alayira ng’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu eyannunula mu buli kabi konna; 30 era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”
31 Awo Basuseba n’avuunama ku ttaka mu maaso ga kabaka ng’agamba nti, “Mukama wange Kabaka Dawudi awangaale emirembe gyonna!” 32 Kabaka Dawudi n’ayogera nti, “Muyite Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada bayingire.” Bwe bajja mu maaso ga kabaka, 33 n’abagamba nti, “Mutwale abaweereza ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange, mumuserengese e Gikoni. 34 Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Mufuuwe ekkondeere era muleekaane nti, ‘Kabaka Sulemaani awangaale.’ 35 Mwambuke naye, atuule ku ntebe yange ey’obwakabaka era afuge mu kifo kyange. Mmufudde omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda.”
36 Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu kabaka nti, “Amiina! Mukama Katonda wa mukama wange kabaka akituukirize. 37 Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa n’okusinga entebe ey’obwakabaka eya mukama wange Kabaka Dawudi!”
38 Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi§ ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni. 39 Zadooki kabona n’aggya ejjembe ery’amafuta mu weema,* n’afuka amafuta ku Sulemaani. Awo ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne baleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Kabaka Sulemaani awangaale.” 40 Abantu bonna ne bambuka okumugoberera nga bafuuwa endere, era nga basanyuka essanyu lingi, ettaka n’okwatika ne lyatika olw’oluyoogaano olunene.
41 Adoniya n’abagenyi be bonna ne bawulira oluyoogaano bwe baali nga bamaliriza okulya. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly’ekkondeere, n’abuuza nti, “Ekibuga nga kiyoogaana?” 42 Awo bwe yali ng’akyayogera laba, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n’atuuka. Adoniya n’ayogera nti, “Yingira kubanga omusajja omulungi nga ggwe ateekwa kuba ng’aleese mawulire malungi.”
43 Yonasaani n’addamu nti, “Nedda. Mukama waffe Kabaka Dawudi, obwakabaka abuwadde Sulemaani, 44 era kabaka atumye Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi, okugenda naye nga bamwebagazza ennyumbu ya kabaka. 45 Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni, era bambuse okuvaayo nga bajaguza, n’ekibuga kiwuumira ddala. Okwo kwe kuleekaana kwe muwulira. 46 Kaakano Sulemaani atudde ku ntebe ey’obwakabaka. 47 N’abakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ng’asinza ku kitanda kye, 48 n’agamba nti, ‘Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isirayiri, akkirizza amaaso gange okulaba omusika ku ntebe yange ey’obwakabaka leero.’ ”
49 Abagenyi ba Adoniya bonna olwawulira ebyo ne beekanga nnyo, ne basituka ne basaasaana. 50 Adoniya n’aggwaamu amaanyi olwa Sulemaani okulya obwakabaka, era n’agenda ne yeekwata ku mayembe g’ekyoto. 51 Awo ne babuulira Sulemaani nti, “Adoniya atidde kabaka Sulemaani era yeekutte ku mayembe g’ekyoto. Agambye nti, ‘Kabaka Sulemaani andayirire leero nti tajja kutta muddu we n’ekitala.’ ”
52 Sulemaani n’addamu nti, “Bw’alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe na lumu oluligwa wansi; naye bw’alirabikamu ekibi, alifa.” 53 Awo Kabaka Sulemaani n’atuma abasajja, ne baggya Adoniya ku kyoto. N’ajja n’avuunamira kabaka Sulemaani, Sulemaani n’amugamba nti, “Weddireyo ewuwo.”
* 1:5 Adoniya ye yali mutabani wa Dawudi owookuna (2Sa 3:4) ng’aweza emyaka nga asatu mu etaano. Amunoni, ne Abusaalomu, ne Kiriyaabu (eyafa nga muto) bonna baali baafa 1:7 Zeruyiya ye yali mwannyina Dawudi. 1:33 Abaweereza mu nsonga eno kitegeeza eggye lya kabaka erimukuuma § 1:38 Abakeresi n’Abaperesi baali bakuumi ba Dawudi ab’oku mwanjo. Baava Kuleete ne Bufirisuuti (2Sa 8:18) * 1:39 Eweema eyogerwako wano ye weema Dawudi gye yakolera essanduuko ey’endagaano ya Katonda. Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu eyazimbibwa, ng’Abayisirayiri bakyali mu ddungu, yali ekyali e Gibyoni (3:4; 2Sa 6:17)