4
Abakungu ba Sulemaani
1 Kabaka Sulemaani n’aba kabaka wa Isirayiri yonna.
2 Era bano be baali abakungu be:
Azaliya muzzukulu wa Zadooki, yali kabona,
3 Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi,
Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza,
4 Benaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi w’eggye omukulu,
Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona,
5 Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu w’abaami,
Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu,
6 Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka;
ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu w’abaddu.
7 Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.
8 Era gano ge mannya gaabwe:
Benikuli, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu;
9 Benidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eroni Besukanani;
10 Benikesedi, mu Alubbosi, Soko n’ensi yonna ey’e Kefera yali yiye;
11 Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli;
12 Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;
13 Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo;
14 Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;
15 Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,
16 Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;
17 Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;
18 Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;
19 Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.
20 Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka.
21 Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe.
22 Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri;
23 ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu.
24 Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola.
25 Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.
26 Sulemaani yalina ebisibo by’embalaasi ezisika amagaali enkumi nnya, n’abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
27 Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya.
28 Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa.
Amagezi ga Sulemaani
29 Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja.
30 Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba, ate n’okusinga ago ag’e Misiri.
31 Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde.
32 Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano.
33 Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja.
34 Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.