12
Yekoyaasi Addaabiriza Yeekaalu
Mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yeeku, Yekoyaasi, nnyina nga ye Zebbiya ow’e Beeruseba, n’atandika okuba kabaka, n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi. Yekoyaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga. Wabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, n’abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebyo.
Awo Yekoyaasi n’agamba bakabona nti, “Mukuŋŋaanye ensimbi zonna ezireetebwa ng’ebiweebwayo ebitukuzibwa mu yeekaalu ya Mukama, ensimbi ez’omusolo buli muntu z’awaayo, n’ensimbi buli muntu z’awaayo ng’endobolo mu yeekaalu, n’ensimbi buli muntu ze yeesalira kyeyagalire, n’azireeta mu yeekaalu ya Mukama, n’oluvannyuma buli kabona addire ezo z’akuŋŋaanyizza aziweeyo okuddaabiriza buli aweetaagisa ku yeekaalu.”
Naye oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri mu esatu egy’obufuzi bwa kabaka Yekoyaasi, bakabona ne baba nga tebannaddaabiriza yeekaalu. Awo kabaka Yekoyaasi* n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, n’ababuuza nti, “Kiki ekibalobera okuddaabiriza yeekaalu? Kale nno, mulekeraawo okutoola ku nsimbi ezikuŋŋaanyizibwa, naye muziweeyo olw’okuddaabiriza yeekaalu.” Bakabona ne bakkiriziganya obutaddayo kukuŋŋaanya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuvunaanyizibwa okuddaabiriza yeekaalu.
Yekoyaada kabona asinga obukulu n’addira essanduuko n’awumula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n’agiteeka ku luuyi olwa ddyo okumpi n’ekyoto okuliraana n’awayingirirwa. Bakabona abaakuumanga omulyango ne bateekangamu ensimbi zonna ezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama. 10 Awo bwe baalabanga ng’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama ziweze nnyingi mu ssanduuko, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajjanga okuzibala n’okuzitereka. 11 N’oluvannyuma ensimbi ezo baazikwasanga abasajja abaali baweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga omulimu ogwakolebwanga ku yeekaalu, bo ne basasulanga abakozi, n’abazimbi abaabulijjo, n’abazimbi b’amayinja, n’abatema amayinja, abo bonna nga baddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 12 Ate era ku ezo ensimbi kwe baagulanga embaawo, n’amayinja amabajje okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama n’olwebirala ebyetaagisanga mu kuddaabiriza okwo.
13 Ensimbi ezaaleetebwanga mu yeekaalu tezaakozesebwanga kukola bensani eza ffeeza, oba ebisalako ebisirinza, oba ebibya, oba amakondeere wadde ekintu kyonna ekya zaabu oba ffeeza ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama; 14 kubanga baazisasulanga abakozi abaali baddaabiriza yeekaalu. 15 Era kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa y’ensimbi ezo kubanga baakolanga n’obwesigwa. 16 Ensimbi ezaavanga mu biweebwayo eby’okulumiriza n’ebiweebwayo olw’ekibi tezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama, zaabanga za bakabona.
17 Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi. 18 Naye Yekoyaasi kabaka wa Yuda n’addira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, n’ebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, n’abiggya mu yeekaalu ya Mukama n’abiweereza Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri n’alekayo okulumba Yerusaalemi.
19 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 20 Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro. 21 Abaali mu lukwe olwo baali Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, era be baamutta. N’afa n’aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we n’amusikira.
* 12:7 Mu kiseera kino Yekoyaasi yali wa myaka amakumi asatu