12
Okutukuzibwa Oluvannyuma lw’Okuzaala
1 Mukama n’agamba Musa nti,
2 “Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bw’anaabanga olubuto, n’azaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bw’atabeera mulongoofu ng’ali mu kiseera ky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi.
3 Ku lunaku olw’omunaana omwana oyo omulenzi anaakomolebwanga.
4 Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ng’ennaku z’okutukuzibwa kwe ziweddeko.
5 Naye bw’anaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bw’abeera ng’ali mu kiseera kye eky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala.
6 “ ‘Ennaku z’omukazi oyo ez’okutukuzibwa bwe zinaggwangako, bw’anaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, omwana gw’endiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’enjiibwa ento oba ejjiba ng’ekiweebwayo olw’ekibi.
7 Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bw’atyo anaabeeranga mulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’amaze okuzaala.
“ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala.
8 Bw’anaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga ky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ekirala nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.’ ”