17
Etteeka ku Biweebwayo Ebitali bya Bulijjo
1 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 “Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Kino Mukama ky’alagidde:
3 Omuntu yenna Omuyisirayiri anaawangayo ekiweebwayo eky’ente, oba endiga ento, oba embuzi, munda mu lusiisira oba ebweru w’olusiisira,
4 nga tagireese ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okugiwaayo ng’ekirabo ekiweebwayo eri Mukama Katonda mu kisasi ky’Eweema ya Mukama; omuntu oyo anaabanga azzizza omusango ogw’okuyiwa omusaayi; olwokubanga ayiye omusaayi, anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
5 Ekyo kiri bwe kityo abaana ba Isirayiri balyoke balekeraawo okuweerangayo ebiweebwayo byabwe ebweru mu nnimiro, naye babireetenga awali Mukama Katonda. Kibagwanira okubireetanga eri Mukama babikwasenga kabona ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne biryoka bittibwa nga bye biweebwayo eri Mukama olw’emirembe.
6 Kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, amasavu n’agookya ne muvaamu akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda.
7 Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi ky’embuzi, be bakola nabyo eby’obwamalaaya. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera n’okuyita mu mirembe egigenda okuddawo.
8 “Era bagambe nti, Buli muntu yenna Omuyisirayiri, oba omunnaggwanga yenna abeera mu bo, aliwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky’engeri yonna,
9 nga takireese ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okukiwaayo eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
10 “Omuntu yenna Omuyisirayiri oba ow’omu bannamawanga ababeera mu Isirayiri bw’anaalyanga omusaayi ogw’engeri yonna, nnaamunyiigiranga oyo anaalyanga omusaayi, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagananga ne banne.
11 Kubanga obulamu bw’ekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bw’omuntu.
12 Noolwekyo Abayisirayiri mbagamba nti tewabanga n’omu mu mmwe anaalyanga omusaayi, era ne munnaggwanga abeera mu mmwe naye taalyenga musaayi.
13 “Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga abeera mu mmwe, bw’anaayigganga ensolo oba ennyonyi nga ya kulya, anaagikenenulangamu omusaayi n’agubikkako ettaka,
14 kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo. Abayisirayiri kyenvudde mbagamba nti temulyanga musaayi gwa kitonde eky’engeri yonna, kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo, omuntu yenna anaagulyanga anaagobwanga n’agaanibwa okukolagana ne banne.
15 “Omuntu yenna omuzaaliranwa oba omunnaggwanga anaalyanga ekintu kyonna ekinaabanga kisangiddwa nga kifu, oba nga kitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabeeranga mulongoofu.
16 Naye bw’ataayozenga byambalo bye, n’okunaaba n’atanaaba, ye anaabanga yeeretedde obutali bulongoofu bwe okumusigalako.”