5
Ebikolwa Ebyetaagisa Ebiweebwayo olw’Ekibi
1 “ ‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.
2 “ ‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango.
3 Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango.
4 Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu.
5 Omuntu bw’anazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo ky’anaabanga akoze,
6 era n’aleeta ekiweebwayo kye olw’omusango eri Mukama olw’ekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ng’abiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olw’ekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye.
Ebiweebwayo olw’Ebibi eby’Abaavu
7 “ ‘Omuntu bw’anaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olw’obwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olw’ekibi omuntu oyo ky’akoze, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi, ekimu nga kye ky’ekiweebwayo olw’ekibi ekirala nga kye ky’ekiweebwayo ekyokebwa.
8 Anaabireeteranga kabona, n’asooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo y’ekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko;
9 anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi.
10 Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye ky’anaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
11 “ ‘Omuntu oyo omwavu bw’anaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olw’ekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi okuba ekiweebwayo kye olw’okwonoona. Taabuteekengamu mafuta wadde obubaane, kubanga kiweebwayo olw’ekibi.
12 Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
13 Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro by’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke.’ ”
Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Omusango
14 Mukama n’agamba Musa nti,
15 “Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango.
16 Era anaaliwanga olw’ekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano eky’omuwendo gw’ekyo ky’anabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, bw’atyo anaasonyiyibwanga.
17 “Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango.
18 Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Kabona anaamutangiririranga olw’ekisobyo ky’anaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga.
19 Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango, kubanga anaabanga ayonoonye mu maaso ga Mukama.”