13
Enkyukakyuka za Nekkemiya Ezasembayo
1 Ku lunaku olwo, Ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira, ne bazuula nga kyawandiikibwa nti tewabanga Omwamoni newaakubadde Omumowaabu akkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Katonda,
2 kubanga tebaayaniriza Bayisirayiri na mmere newaakubadde amazzi, wabula baagulirira Balamu akolimire Abayisirayiri. Kyokka Katonda waffe yafuula ekikolimo okuba omukisa.
3 Abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne bagoba bannaggwanga bonna mu Isirayiri.
4 Ebyo nga tebinnabaawo, Eriyasibu omu ku bakabona, yali aweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga amawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, kyokka nga mukwano nnyo wa Tobiya.
5 Eriyasibu yali awadde Tobiya ekimu ku bisenge ebigazi omwali muterekebwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’omugavu, n’ebintu ebikozesebwa mu kusinza, ne kimu kya kkumi eky’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, awamu n’omuzigo ogwaweebwanga Abaleevi, n’abayimbi, n’abakuumi ba wankaaki, n’ebyo ebyaweebwanga bakabona.
6 Kyokka ebyo byonna bwe byali bikolebwa, ssaali mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri ogw’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni, nnali nzizeeyo eri kabaka. Oluvannyuma lw’ebbanga, ne nsaba kabaka,
7 ne nkomawo e Yerusaalemi, ne manyisibwa ekibi Eriyasibu kye yali akoze, bwe yawa Tobiya ekisenge mu mpya z’ennyumba ya Katonda.
8 Ne nyiiga nnyo era ne nkasuka ebintu bya Tobiya byonna ebweru, okubiggya mu kisenge.
9 Ne ndagira ebisenge bitukuzibwe, n’oluvannyuma ebintu ebyabeeranga mu nnyumba ya Katonda, n’emmere ey’empeke, n’omugavu ne biddizibwamu.
10 Ne ntegeezebwa ng’emigabo gy’Abaleevi nagyo gyali tegibaweerebbwa, era nga n’Abaleevi bonna awamu n’abayimbi baali bazzeeyo mu bibanja byabwe.
11 Kyenava nnenya abakungu ne mbabuuza nti, “Lwaki ennyumba ya Katonda terabiriddwa?” Bonna ne mbayita ne mbagamba bakomewo mu bifo mwe baabeeranga.
12 Yuda yenna ne baleeta ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke ne wayini omuggya n’omuzigo, ne babiteeka mu mawanika.
13 Ne nnonda Seremiya omu ku bakabona, ne Zadooki omuwandiisi, ne Pedaya omu ku Baleevi balabirirenga amawanika. Ne nnonda ne Kanani mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya okubayambangako; baali basajja beesimbu.
14 Ozinjukirenga Ayi Katonda wange olw’ekikolwa ekyo, oleme okusangulawo ebyo byonna bye nakolera ennyumba ya Katonda wange, n’okuweereza kwe naweereza n’obwesigwa.
15 Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo.
16 Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.
17 Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti?
18 Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”
19 Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti.
20 Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi n’abatundanga ebintu eby’engeri zonna baasula ebweru w’ekibuga Yerusaalemi.
21 Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti.
22 Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu.
Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.
23 Ate era mu nnaku ezo, ne ndaba abasajja ba Yuda abaali bawasizza abakazi okuva mu Asudodi, ne Amoni, ne Mowaabu.
24 Kimu kyakubiri ku baana baabwe baali boogera olulimi lw’Abasudodi, oba olumu ku nnimi z’abantu abalala.
25 Ne mbanenya ne mbakolimira. Ne nkubako abamu ku basajja abo Abayudaaya, ne mbakuunyuulako enviiri. Ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti, “Temuwangayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe, wadde bawala baabwe okufumbirwa batabani bammwe, oba mmwe mwennyini.
26 Okufumbiriganwa okw’engeri eyo, si kwe kwaleetera Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga gonna, tewaali kabaka nga ye. Yali ayagalibwa nnyo Katonda, era Katonda yamufuula kabaka wa Isirayiri yonna, kyokka abakazi bannaggwanga amalala, baamuwabya, n’akola ebibi.
27 Ate tuwulira nga mukoze ebintu bino ebibi bwe bityo. Temuba beesigwa eri Katonda waffe bwe muwasa abakazi bannamawanga.”
28 Omu ku batabani ba Yekoyaada, mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni. Ne mmugoba we ndi.
29 Bajjukire, Ayi Katonda wange, kubanga baayonoona omulimu gw’obwakabona n’endagaano y’obwakabona ne ey’Abaleevi.
30 Ne ntukuza bakabona awamu n’Abaleevi okuva mu buli kintu kyonna ekitali kitukuvu, buli omu ne mmuwa emirimu egy’okukola.
31 Ne nteekawo enkola ey’abantu okuwaayo enku mu biseera ebigereke, era n’ebibala ebibereberye.
Onzijukire n’okwagala kwo Ayi Katonda wange.