8
Ekikondo ky’Ettaala
1 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 “Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bw’oba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’ ”
3 Alooni n’akola bw’atyo; n’akoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso g’ekikondo ky’ettaala, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
4 Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa ng’ekifaananyi ekyokulabirako Mukama Katonda kye yalaga Musa bwe kyali.
Obulongoofu bw’Abaleevi
5 Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
6 “Ggyamu Abaleevi mu baana ba Isirayiri, obafuule balongoofu.
7 Okubafuula abalongoofu ojja kukola bw’oti: bamansireko amazzi ag’obulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze n’engoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu.
8 Balagire baweeyo ente ya sseddume ento n’ekiweebwayo ekigenderako eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; n’oluvannyuma naawe oddire ente ya sseddume ento ogiweeyo olw’ekiweebwayo olw’ekibi.
9 Abaleevi obaleete mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era okuŋŋaanyize awo ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna.
10 Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo.
11 Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa Mukama.
12 “Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente zisseddume zombi; emu onoogiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, okutangiririra Abaleevi.
13 Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.
Abaleevi Bayawulwa ku Bantu
14 “Bw’otyo bw’onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange.
15 “Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.
16 Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri.
17 Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna eby’omu nsi y’e Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange.
18 Kaakano ntutte Abaleevi mu kifo ky’ababereberye mu baana ba Isirayiri.
19 Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.”
20 Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
21 Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni n’abawaayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, n’abatangiririra okubafuula abalongoofu.
22 Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
23 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
24 “Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu;
25 naye bwe banaawezanga emyaka egy’obukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza.
26 Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.”