Zabbuli 47
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
1 Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
2 Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
Ye Kabaka afuga ensi yonna.
3 Yatujeemululira abantu,
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
4 Yatulondera omugabo gwaffe,
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
5 Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
6 Mutendereze Katonda, mumutendereze.
Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.
7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.
8 Katonda afuga amawanga gonna;
afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
9 Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
Katonda agulumizibwenga nnyo.