Zabbuli 80
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.
1 Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
2 Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,
ojje otulokole.
3 Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
otutunuulize amaaso ag’ekisa,
otulokole.
4 Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
5 Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
6 Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
n’abalabe baffe ne batuduulira.
7 Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulokolebwe.
8 Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
9 Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.
12 Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15 Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
era ggwe weerondera omwana wo.
16 Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.