Zabbuli 95
1 Mujje tuyimbire Mukama;
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2 Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3 Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
5 Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6 Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7 Kubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8 “Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba,
ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu;
9 bajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11 Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”