Ekitabo Ekiyitibwa
Ebyomumirembe
eky’Olubereberye
1
Ebyafaayo by’Okuzaalibwa kwa Adamu Okutuuka ku Ibulayimu
1 Adamu yazaala Seezi, Seezi n’azaala Enosi;
2 Enosi n’azaala Kenani, Kenani n’azaala Makalaleri, Makalaleri n’azaala Yaledi;
3 Yaledi n’azaala Enoka, Enoka n’azaala Mesuseera, Mesuseera n’azaala Lameka,
Lameka n’azaala Nuuwa.
4 Nuuwa n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
5 Batabani ba Yafeesi baali:
Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
6 Batabani ba Gomeri baali:
Asukenaazi, ne Difasi ne Togaluma.
7 Batabani ba Yavani baali:
Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu, ne Lodanimu.
8 Batabani ba Kaamu baali:
Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti, ne Kanani.
9 Batabani ba Kuusi baali:
Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka.
Ne batabani ba Laama baali:
Seeba ne Dedani.
10 Kuusi n’azaala
Nimuloodi, Nimuloodi n’akula n’afuuka omusajja omuzira ow’amaanyi mu nsi.
11 Mizulayimu n’azaala
Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu;
12 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (Abafirisuuti mwe basibuka), ne Kafutolimu.
13 Kanani n’azaala
Sidoni, ye mutabani we omukulu, ne Keesi;
14 n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi;
15 n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini;
16 n’Aballuvadi, n’Abazemali n’Abakamasi.
17 Batabani ba Seemu baali:
Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
Ate batabani ba Alamu baali:
Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.
18 Alupakusaadi n’azaala Seera,
Seera n’azaala Eberi.
19 Eberi yazaala abaana babiri aboobulenzi,
erinnya ly’omu nga ye Peregi, amakulu nti ensi yali egabiddwamu, n’erinnya ly’omulala nga ye Yokutaani.
20 Yokutaani n’azaala
Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera;
21 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula;
22 ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba;
23 ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu. Era abo bonna be baali batabani ba Yokutaani.
24 Enda ya Seemu okutuuka ku Ibulaamu ye yali eno; Seemu n’azaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n’azaala Seera,
25 Seera n’azaala Eberi, Eberi n’azaala Peregi, ne Peregi n’azaala Lewu.
26 Lewu n’azaala Serugi, Serugi n’azaala Nakoli, ne Nakoli n’azaala Teera,
27 Teera n’azaala wa Ibulaamu, oyo ye Ibulayimu.
28 Batabani ba Ibulayimu baali
Isaaka ne Isimayiri.
29 Luno lwe lulyo lwabwe:
Nebayoosi ye yali mutabani wa Isimayiri omukulu, ne kulyoka kuddako Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
30 ne Misuma, ne Duma, ne Massa, ne Kadadi, ne Teema,
31 ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. Eyo y’enda ya Isimayiri.
Ezadde lya Ketula
32 Batabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali
Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa.
Ate batabani ba Yokusaani baali
Seeba ne Dedani.
33 Batabani ba Midiyaani baali
Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda.
Abo bonna be baali bazzukulu ba Ketula.
Ezadde lya Sala
34 Ibulayimu n’azaala Isaaka;
batabani ba Isaaka baali
Esawu ne Isirayiri.
35 Batabani ba Esawu baali
Erifaazi, ne Leweri, ne Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
36 Batabani ba Erifaazi baali
Temani, ne Omali, ne Zeefi, ne Gatamu, ne Kenozi,
ne Timuna ne Amaleki.
37 Batabani ba Leweri baali
Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza.
38 Batabani ba Seyiri baali
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
39 Batabani ba Lotani baali
Kooli, ne Komamu; Timuna yali mwannyina Lotani.
40 Batabani ba Sobali baali
Aliyani, ne Manakasi, ne Ebali, ne Seefi ne Onamu.
Ne batabani ba Zibyoni baali
Aya ne Ana.
41 Mutabani wa Ana yali
Disoni,
batabani ba Disoni nga be ba
Kamulani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
42 Batabani ba Ezeri baali
Birukani, ne Zaavani ne Yaakani;
batabani ba Disani baali
Uzi ne Alani.
Bakabaka ba Edomu
43 Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu nga tewannabaawo kabaka mu Isirayiri abafuga:
Bera mutabani wa Byoli n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Dinukaba.
44 Bera bwe yafa, Yokabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira okuba kabaka.
45 Yokabu bwe yafa, Kusamu eyava mu nsi y’Abatemani, n’amusikira okuba kabaka.
46 Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi.
47 Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
48 Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’omugga Fulaati, n’afuga mu kifo kye.
49 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
50 Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu.
51 Kadadi naye n’afa.
Abakungu ba Edomu baali
Timuna, ne Aliya, Yesesi,
52 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
53 ne Kenozi, ne Temani, ne Mibuzali,
54 ne Magudyeri, ne Iramu.
Abo be baali abakungu ba Edomu.