23
Abaleevi
1 Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.
2 Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi.
3 Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana.
4 Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi.
5 Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.”
6 Awo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
7 Abaana ba Gerusoni baali
Ladani ne Simeeyi.
8 Batabani ba Ladani baali
Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu.
9 Batabani ba Simeeyi baali
Seromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu,
era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani.
10 Batabani ba Simeeyi omulala
Yakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya,
be bana bonna awamu.
11 Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu.
12 Batabani ba Kokasi baali
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana.
13 Batabani ba Amulaamu baali
Alooni ne Musa.
Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
14 Batabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi.
15 Batabani ba Musa baali
Gerusomu ne Eryeza.
16 Mu bazzukulu ba Gerusomu,
Sebweri ye yali omukulu.
17 Mu bazzukulu ba Eryeza,
Lekabiya ye yali omukulu.
Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala.
18 Mu batabani ba Izukali,
Seromisi ye yali omukulu.
19 Mu batabani ba Kebbulooni,
Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
20 Mu batabani ba Wuziyeeri,
Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri.
21 Batabani ba Merali baali
Makuli ne Musi.
Batabani ba Makuli baali
Eriyazaali ne Kiisi.
22 Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa.
23 Batabani ba Musi baali
Makuli, Ederi ne Yeremosi be basatu.
24 Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama.
25 Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna,
26 Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.”
27 Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo.
28 Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda.
29 Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo.
30 Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi,
31 ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.
32 Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.