29
Ebirabo eby’Okuzimba Yeekaalu
1 Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda.
2 Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo.
3 Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange;
4 ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge by’ekizimbe,
5 n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?”
6 Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa.
7 Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda.
8 Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni.
9 Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini.
Essaala ya Dawudi
10 Awo Dawudi n’atendereza Mukama mu lujjudde lw’abantu bonna, n’ayogera nti,
“Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda,
Katonda wa jjajjaffe Isirayiri,
emirembe n’emirembe.
11 Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi,
n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda,
kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.
Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda,
era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
12 Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,
era ggwe ofuga ebintu byonna;
omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza
era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
13 Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza
era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
14 “Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo.
15 Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi.
16 Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo.
17 Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu.
18 Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe.
19 Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”
20 Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.
Sulemaani Atikkirwa Okuba Kabaka
21 Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna.
22 Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo.
Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona.
23 Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera.
24 Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani.
25 Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.
Okufa kwa Dawudi
26 Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna.
27 Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi.
28 N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.
29 Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi,
30 era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.