14
1 Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, era ku mulembe gwe ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka kkumi.
Asa kabaka wa Yuda
2 Asa n’akola ebyali ebirungi nga bituufu mu maaso ga Mukama Katonda we.
3 N’aggyawo ebyoto eby’abannamawanga n’ebifo ebigulumivu, era n’amenyaamenya empagi, n’ebifaananyi bya Asera n’abitemaatema.
4 N’alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabe, era n’okukuuma amateeka ge n’ebiragiro bye.
5 Era n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto eby’obubaane mu bibuga byonna ebya Yuda, n’obwakabaka ne buba n’emirembe mu bufuzi bwe.
6 N’azimba ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, era ne wataba n’omu eyayaŋŋanga okulwana naye, kubanga Mukama yamuwa okuwummula ku njuyi zonna.
7 N’agamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala.
8 Asa yalina eggye nga lya basajja emitwalo amakumi asatu okuva mu Yuda, nga balina engabo ennene n’amafumu, n’abalala emitwalo amakumi abiri mu munaana abaava mu Benyamini nga balina engabo entono n’obusaale, era bonna nga basajja bazira.
9 Olunaku lumu, Zeera Omwesiyopya n’abalumba ng’alina eggye lya basajja akakadde kamu, n’amagaali ebikumi bisatu, n’atuuka n’e Malesa.
10 Asa n’agenda okumutabaala, buli omu ku bo n’asimba ennyiriri ez’entalo mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
11 Awo Asa n’akoowoola Mukama Katonda we ng’agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”
12 Awo Mukama n’akubira Abaesiyopiya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda, Abaesiyopiya ne badduka.
13 Asa n’eggye lye ne babagoba okutuuka e Gerali, era bangi ku Baesiyopya ne bagwa, ne wataba n’omu ku bo alama, kubanga eggye lya Mukama lyabazikiriza. Abasajja aba Yuda ne beetikka omunyago mungi.
14 Ne bazikiriza ebibuga byonna ebyali byetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya Mukama yabagwira. Ne banyaga ebyalo byonna, kubanga byalimu omunyago mungi.
15 Ne balumba n’ebibinja by’abalaalo, ne batwala ente, n’endiga, n’embuzi, n’eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi.