19
Sawulo Agezaako Okutta Dawudi
1 Awo Sawulo n’agamba mutabani we Yonasaani, n’abaweereza be bonna, batte Dawudi. Naye Yonasaani yayagalanga nnyo Dawudi,
2 bw’atyo n’amulabula ng’agamba nti, “Kitange Sawulo anoonya bw’anaayinza okukutta. Weekuume enkya ku makya, weekweke mu kifo ekikusifu obeere eyo.
3 Nnaagenda ne nnyimirira ne kitange mu nnimiro, w’onoobeera, ne njogera naye ku bikukwatako, n’oluvannyuma nzija kujja nkutegeeze bye nnaazuula.”
4 Awo Yonasaani n’ayogera bulungi ku Dawudi eri Sawulo kitaawe ng’agamba nti, “Kabaka aleme okukola akabi ku muddu we Dawudi, kubanga talina kyakukoze, era akuweereza bulungi nnyo mu mirimu egy’omugaso.
5 Yeewaayo n’atta Omufirisuuti; Mukama n’aleetera Isirayiri yenna, obuwanguzi obw’ekitalo, n’okiraba n’osanyuka. Lwaki oyigganya omuntu nga Dawudi ataliiko musango, n’oyagala okumutta awatali nsonga?”
6 Sawulo n’awuliriza Yonasaani, era n’amulayirira ng’agamba nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa.”
7 Awo Yonasaani n’ayita Dawudi, n’amutegeeza byonna. N’amuleeta eri Sawulo, Dawudi n’addamu n’aweereza Sawulo ng’olubereberye.
8 Ne wagwawo olutalo nate, Dawudi n’agenda okulwana n’Abafirisuuti, n’abakuba n’atta bangi ku bo, abaasigalawo ne badduka.
9 Awo omwoyo omubi okuva eri Mukama ne gujja ku Sawulo bwe yali ng’atudde mu nnyumba ye, ng’akutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ng’akuba entongooli.
10 Sawulo n’agezaako okumufumitira ku kisenge n’effumu, naye Dawudi n’alyewoma, ne likwasa ekisenge. Ekiro ekyo Dawudi n’adduka n’awona.
11 Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, “Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.”
12 Awo Mikali n’assiza Dawudi mu ddirisa, n’adduka n’agenda ne yeekweka.
13 Mikali n’addira ekifaananyi ekyole n’akiteeka ku kitanda, n’akibikkako olugoye, n’assa n’ebyoya eby’embuzi ku mutwe gwakyo.
14 Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali n’abagamba nti, “Mulwadde.”
15 Sawulo n’abatuma baddeyo bamulabe era n’abalagira nti, “Mumundeetere mu kitanda kye, mmutte.”
16 Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya by’embuzi.
17 Sawulo n’abuuza Mikali nti, “Lwaki wannimbye bw’otyo, n’oleka omulabe wange okudduka, n’okuwona n’awona?” Mikali n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Bw’otondeke kugenda nzija kukutta.’ ”
18 Awo Dawudi n’addukira eri Samwiri e Laama, n’amutegeeza byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda e Nayosi ne babeera eyo.
19 Sawulo n’ategeezebwa nti, “Dawudi ali Nayosi mu Laama;”
20 n’atuma ababaka okumuwamba. Naye bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera eby’obunnabbi, nga Samwiri ye mukulembeze waabwe, Omwoyo wa Katonda n’akka ku basajja ba Sawulo, nabo ne baba nga bali.
21 Awo Sawulo bwe yategeezebwa ekibaddewo, n’atuma ababaka abalala nabo ne baba nga bali. Sawulo n’atuma ekibinja ekyokusatu, era nabo ne baba nga bali.
22 Ekyavaamu, ye yennyini kwe kugenda e Laama, n’atuuka awali oluzzi olunene oluli e Seku, n’abuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Bali Nayosi mu Laama.”
23 Awo Sawulo n’agenda e Nayosi mu Laama, naye Omwoyo wa Mukama n’amukkako, n’atambula ng’ayogera eby’obunnabbi okutuuka e Nayosi.
24 Ne yeyambula ebyambalo bye, n’atandika okwogera nga bannabbi mu maaso ga Samwiri. N’abeera bw’atyo olunaku lwonna n’okuzibya obudde. Abantu kyebaava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”