21
Dawudi ng’ali e Nobu
1 Dawudi n’agenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki n’ajja ng’akankana okusisinkana Dawudi, n’amubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?”
2 Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, n’aŋŋamba nti, ‘Tewaba n’omu amanya ku nsonga eno, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana.
3 Kale nno kiki ky’olina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna ky’olinawo.”
4 Kabona n’addamu Dawudi nti, “Sirinaawo migaati gya bulijjo okuggyako emigaati egyatukuzibwa, wabula nga abasajja bo beetukuza era nga beekuumye obuteetaba na bakazi.”
5 Dawudi n’amugamba nti, “Abakazi tebabeera naffe, era bulijjo bwe kitera okuba bwe tugenda ku mulimu. Emibiri gy’abasajja giba mitukuvu ne bwe baba ku ŋŋendo eza bulijjo. Kale obanga tutera okwekuuma, olowooza leero emibiri gyabwe tegisinga nnyo kuba mitukuvu?”
6 Awo kabona n’amuwa emigaati egyatukuzibwa kubanga tewaaliwo migaati mirala wabula emigaati egy’Okulaga egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, buli lunaku nga giwoze, egibuguma ne gissibwawo mu kifo kya gyo.
7 Ku lunaku olwo omu ku baweereza ba Sawulo eyayitibwanga Dowegi Omwedomu, era nga ye mukulu w’abasumba ba Sawulo, yali asigadde mu maaso ga Mukama okutukuzibwa.
8 Dawudi n’abuuza Akimereki nti, “Tolinaawo ffumu newaakubadde ekitala awo? Ssaayise na kitala kyange newaakubadde ekyokulwanyisa n’ekimu, kubanga omulimu kabaka gwe yantumye gwabadde gwa kukolerawo.”
9 Kabona n’amuddamu nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, weekiri wano; kisabikiddwa mu lugoye emabega w’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. Bw’oba ng’okyetaaga, kitwale. Tewaliwo kitala kirala wabula ekyo.”
Dawudi n’ayogera nti, “Tewali kikyenkana; kimpe.”
Dawudi Addukira e Gaasi
10 Ku lunaku olwo Dawudi n’adduka Sawulo n’agenda eri Akisi kabaka w’e Gaasi.
11 Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti,
“ ‘Sawulo asse enkumi ze
ne Dawudi emitwalo gye?’ ”
12 Dawudi n’akuuma ebigambo ebyo mu mutima gwe, era n’atya nnyo Akisi kabaka w’e Gaasi.
13 Kyeyava yeefuula omulalu mu maaso gaabwe, n’aba ng’agudde eddalu, n’awandiika ebitategeerekeka ku wankaaki, nga bw’akulukusa amalusu ku birevu bye.
14 Akisi n’agamba abaweereza be nti, “Mulabe! Omusajja mulalu! Lwaki mumundeetedde?
15 Mbuliddwa abalalu, n’okuleeta ne mundeetera omusajja ono okukola ebifaanana bwe biti mu maaso gange? Omusajja ono asaana okuggya mu nnyumba yange?”