9
Samwiri Afuka ku Sawulo Amafuta
1 Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini.
2 Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.
3 Endogoyi za Kiisi, kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n’agamba mutabani we Sawulo nti, “Twala omu ku baweereza, mugende munoonye endogoyi.”
4 Ne bayitira mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ya Saalimu naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ye Benyamini, naye ne zibabula.
5 Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku b’endogoyi, n’atandika okweraliikirira ffe.”
6 Naye omuweereza n’amuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli ky’ayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.”
7 Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”
8 Omuweereza n’addamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.”
9 (Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi).
10 Sawulo n’amuddamu nti, “Oteesezza bulungi, jjangu tugende.” Ne basitula okugenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali.
11 Awo bwe baali nga balinnyalinnya akasozi okugenda mu kibuga ne basisinkana abawala abaali bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti, “Omulabi gy’ali?”
12 Ne babaddamu nti, “Gy’ali. Ali mu maaso awo. Mwanguweeko, yaakatuuka kati mu kibuga, kubanga leero abantu balina ssaddaaka ey’okuweerayo mu kifo ekigulumivu.
13 Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.”
14 Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ng’ajja gye bali, ng’ayolekedde ekifo ekigulumivu.
15 Kyokka bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, Mukama yali abikkulidde Samwiri ekigambo ng’agamba nti,
16 “Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
17 Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama n’amugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo y’ajja okufuga abantu bange.”
18 Sawulo n’asemberera Samwiri mu mulyango, n’amubuuza nti, “Ssebo oyinza okundagirira ennyumba y’omulabi w’eri?”
19 Samwiri n’amuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo.
20 Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kw’ani, bwe kutaabe ku ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?”
21 Sawulo n’addamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga n’ennyumba yaffe y’esingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ng’ebyo?”
22 Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekinene, n’abatuuza mu bifo eby’oku mwanjo mu maaso g’abo bonna abaayitibwa abaali bawera ng’amakumi asatu.
23 Samwiri n’agamba omufumbi nti, “Leeta ekifi ky’ennyama, kye nakuteresezza, kye nakugambye oteeke wabbali.”
24 Awo omufumbi n’addira ekisambi, n’ebyakiriko n’akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’ayogera nti, “Laba kino kye kyakuterekeddwa. Kirye kubanga kyakuterekeddwa okutuusa ekiseera kino olw’omukolo guno, okuva ku kiseera kiri, bwe nagamba nti, ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo.
25 Bwe baava mu kifo ekigulumivu ne baserengeta mu kibuga, Samwiri n’atwala Sawulo waggulu ku nnyumba ye ne banyumyamu.
26 Awo enkeera Samwiri n’agolokoka mu makya n’akoowoola Sawulo nti, “Golokoka nkusibule odde ku lugendo lwo.” Sawulo ne yeteekateeka, ye ne Samwiri ne baserengeta okugenda mu kibuga.
27 Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.”