22
Oluyimba lwa Dawudi olw’Okutendereza
1 Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo.
2 N’ayogera nti,
“Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
3 Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,
ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.
Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;
ggwe ondokola eri abantu ababi.
4 Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa,
n’andokola eri abalabe bange.
5 “Amayengo ag’okufa ganzingiza;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
6 Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
7 Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
nakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
n’okukaaba kwange kwamutuukako.
8 “Ensi n’ekankana n’ejjugumira,
emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa,
ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
9 Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
n’omuliro ne guva mu kamwa ke,
n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
10 Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
11 Ne yeebagala kerubi n’abuuka,
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
12 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira,
n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
13 Okumasamasa okwali mu maaso ge
kwayakisa amanda ag’omuliro.
14 Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu;
Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
15 Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe
n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
16 Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeruka
olw’okunenya kwa Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
17 “Yasinzira waggulu n’antwala
n’ansika mu mazzi amangi.
18 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,
abo abaali bansinza amaanyi.
19 Bannumba mu nnaku yange
naye Mukama n’ampanirira.
20 Yandeeta mu kifo ekigazi;
yandokola kubanga yansanyukira.
21 “Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;
n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
22 Ntambulidde mu kkubo lya Mukama,
era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
23 Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange,
era ssaava ku biragiro bye.
24 Sizzanga na musango mu maaso ge,
era neekuumye eri obutali butuukirivu.
25 Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.
26 “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa;
n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
27 eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu
n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
28 Olokola abantu abawombeefu,
naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
29 Oli ttaala yange, Ayi Mukama
era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
30 Ku lulwe mpangula eggye,
era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
31 Ekkubo lya Katonda golokofu,
n’ekigambo kye kituukirira;
era ngabo eri abo bonna
abaddukira gy’ali.
32 Kubanga ani Katonda wabula Mukama,
era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
33 Katonda kye kiddukiro kyange,
era alongoosa ekkubo lyange.
34 Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,
era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
35 Anteekateeka okulwana entalo,
era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
36 Ompadde engabo ey’obulokozi bwo,
ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
37 Ogaziyizza ekkubo mwe mpita,
n’obukongovvule bwange tebukoonagana.
38 “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza,
so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
39 Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka,
era bali wansi w’ebigere byange.
40 Wampa amaanyi okulwana entalo,
n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
41 Waleetera abalabe bange okunziruka,
ne nsanyaawo abo abankyawa.
42 Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera,
ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
43 Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,
ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
44 “Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange,
n’onfuula omukulu w’amawanga;
abantu be saamanya be bampeereza.
45 Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira,
bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
46 Bonna baggwaamu omwoyo,
ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.
47 “Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe.
Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
48 Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga,
era ateeka amawanga wansi wange;
49 anziggya mu balabe bange.
Wangulumiza okusinga abalabe bange,
n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
50 Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
51 Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi,
era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”