7
Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto,
ggwe omumbejja!
Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo,
omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba.
Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu,
ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi.
Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano
eyeetooloddwa amalanga.
Amabeere go gali ng’abaana b’empeewo,
abalongo.
Ensingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga.
Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni
ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu.
Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni
ogwolekera Ddamasiko.
Omutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri,
n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu;
Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.
Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa
ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.
Oli muwanvu ng’olukindu,
n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo.
Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu,
era ndikwata ebibala byalwo.”
Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu,
n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa
n’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi.
Omwagalwa
Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange,
ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
10 Ndi wa muganzi wange,
era naye anjagala nnyo.
11 Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga,
tusuleko mu byalo.
12 Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu,
tulabe obanga emizabbibu gimulisizza,
obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza,
obanga n’emikomamawanga gimulisizza,
era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
13 Amadudayimu* gawunya akawoowo,
ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi,
Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde,
bye nkuterekedde muganzi wange.
* 7:13 Amadudayimu gayamba mu by’okuzaala