Ekitabo Ekiyitibwa
Zekkaliya
1
Mukama Ayita Abantu be Okudda gy’ali
1 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:
2 “Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe.
3 Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
4 Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama.
5 Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna?
6 Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?
“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”
Nnabbi Ayolesebwa Embalaasi
7 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti.
8 Nalaba ekiro ng’omusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, n’eza kikuusikuusi, n’emyufu.
9 Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”
10 Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti n’addamu nti, “Ezo embalaasi Mukama z’asindise okulawuna ensi.”
11 Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”
12 Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?”
13 Mukama n’alyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi.
14 Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi,
15 naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’
16 “Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
17 “Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”
18 Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana.
19 Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”
N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”
20 Awo Mukama n’andaga abaweesi bana.
21 Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?”
N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”