6
Okwolesebwa kw’Amagaali Ana
1 Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo.
2 Eggaali esooka ng’esikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu.
3 Eggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi.
4 Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?”
5 Malayika n’anziramu nti, “Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 Ekigaali eky’embalaasi enzirugavu kigenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, ate ekyo eky’enjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ez’obwoya obweru, kiraga mu nsi ey’omu bukiikaddyo.”
7 Awo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna.
8 Awo n’ampita n’aŋŋamba nti, “Laba, ezo eziraga mu nsi ey’obukiikakkono ziwummuzza Omwoyo wange mu nsi ey’omu bukiikakkono.”
9 Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kigamba nti,
10 “Genda eri bano: Kerudayi, ne Tobiya, ne Yedaya, abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, olunaku olwo lwennyini olage mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zeffaniya, mwe bali.
11 Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki.
12 Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama.
13 Oyo y’alizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’afuga. Era y’aliba Kabona ku ntebe ye ey’obwakabaka; walibaawo okutegeeragana okw’emirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’
14 Era n’engule ya kubeera mu yeekaalu ya Mukama ng’ekijjukizo eri Keremu, ne Tobiya ne Keeni omwana wa Zeffaniya.
15 Era n’abo abali ewala balijja okuyamba okuzimba yeekaalu ya Mukama, era mulimanya nga Mukama ow’Eggye yantuma gye muli. Bino tebirirema kubaawo singa munaagondera eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obumalirivu.”