8
Mukama Asuubiza Okuzzaawo Yerusaalemi
1 Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.”
3 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde.
5 N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.”
6 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba:
8 Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”
9 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe.
10 Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we.
11 Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
12 “Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe.
13 Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”
14 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira,
15 bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya.
16 Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe;
17 tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.
18 Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
19 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”
20 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi;
21 era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’
22 Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”
23 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”