Ebbaluwa ya Pawulo Omutukuvu Eyookubiri eri
Timoseewo
1
1 Nze, Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, ng’okusuubiza bwe kuli okw’obulamu obuli mu Kristo Yesu,
2 nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa n’okusaasirwa, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.
Okwebaza n’Okugumya
3 Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro.
4 Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu.
5 Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina.
6 Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange.
7 Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.
8 Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olw’Enjiri ng’oyambibwa amaanyi ga Katonda,
9 eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna.
10 Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri,
11 gye nalonderwa okugisaasaanya, n’okuba omutume, era omuyigiriza,
12 era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.
13 Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu.
14 Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.
15 Kino okimanyi, ng’ab’omu Asiya bonna banjabulira, mu abo mwe muli Fugero ne Kerumogene.
16 Mukama akwatirwe ekisa ab’omu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe;
17 bwe yatuuka e Ruumi, yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula.
18 Mukama amukwatirwe ekisa ku lunaku luli. Era gw’omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.