2
Omuserikale Omwesigwa owa Kristo
1 Noolwekyo mwana wange nywereranga mu kisa ekiri mu Kristo Yesu.
2 Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g’abajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.
3 Naawe bonaabonanga ng’omuserikale omulungi owa Kristo Yesu.
4 Tewali muserikale ng’ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gy’abantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika.
5 Omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo gy’empaka, taweebwa buwanguzi bw’atagoberera biragiro bya mizannyo egyo.
6 Omulimi ategana ennyo y’asaanira okufuna ku bibala ebibereberye.
7 Kale lowooza ku bye ŋŋamba; Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.
8 Jjukira nga Yesu Kristo ow’omu zzadde lya Dawudi yazuukira mu bafu ng’Enjiri gye ntegeeza bw’egamba.
9 Olw’Enjiri eyo, kyenva mbonaabona n’ensibibwa ng’omukozi w’ebibi. Naye ekigambo kya Katonda kyo tekisibiddwa.
10 Kyenva ngumira ebintu byonna olw’abalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, n’ekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu.
11 Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti:
“Obanga twafiira wamu naye,
era tulibeera balamu wamu naye.
12 Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye.
Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.
13 Ffe bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa,
kubanga teyeewakanya.”
Omukozi Katonda gw’Asiima
14 Ebyo bijjukizenga abantu ng’obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza.
15 Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.
16 Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda.
17 Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto,
18 abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza.
19 Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”
20 Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa.
21 Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.
22 Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu.
23 Weewalenga empaka ez’obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana.
24 Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza,
25 era aluŋŋamya n’obwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima,
26 ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese by’ayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.